Jeremiah 21

Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya

1 aKino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, 2 b“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”

3Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, 4 c‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. 5 dNze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. 6 eEra ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. 7 fOluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

8“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. 9 gBuli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. 10 hMmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

11 i“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; 12 jggwe ennyumba ya Dawudi,

“ ‘kino Mukama ky’agamba:
Musale emisango mu bwenkanya,
mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,
obusungu bwange buleme kuvaayo
bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,
nga tewakyali n’omu abuziyiza.
13 kLaba nkugguddeko olutalo,
ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,
ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,
mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?
Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
14 lNzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,
era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,
gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”
bw’ayogera Mukama.
Copyright information for LugEEEE